jamie ategeka - onjagadde mulwaatu lyrics
[intro]
mm+mm
oh+oh, oh+ohh
[verse 1]
ka nfune ekipande yesu nkutimbetimbe
omukwano gw’ondaze mungi gusukkiridde
amaziga ge nkaabye amangi gonna ogasangudde
kibadde kisa bwe bambuuza, tegabadde maanyi gange
[pre+chorus]
kati nkakasizza bye w+ngamba
ndi mwana wo gw’oyagala
ekyo nkirabyeko nze seewakana
ggwe by’oyogera omala n’obikola
yesu nkakasizza bye w+ngamba
ndi mwana wo gw’oyagala
ekyo nkirabyeko nze seewakana
ggwe by’oyogera omala n’obikola
[chorus]
onjagadde mulwaatu, onjagadde mulwaatu
tonvuddemu yesu, ka nkusinze mulwaatu
onjagadde mulwaatu, onjagadde mulwaatu
tonvuddemu yesu, ka nkutende mulwaatu
[verse 2]
ondaze omukwano mungi yesu gwe nali sisaana
abalabe bange, kati be bampeera obujulizi
nga bwe wakikola luli, okikoze ne kati
kyova olaba mpanika emikono nze ne mbuuka+buuka
ndekamu, yesu by’akoze bingi ewaffe
sibitenda, oyo asaanidde
[pre+chorus]
yesu nkakasizza bye w+ngamba
ndi mwana wo gw’oyagala
ekyo nkirabyeko nze seewakana
ggwe by’oyogera omala n’obikola
[chorus]
onjagadde mulwaatu, onjagadde mulwaatu
tonvuddemu yesu, ka nkusinze mulwaatu
onjagadde mulwaatu, onjagadde mulwaatu
tonvuddemu yesu, ka nkutende mulwaatu
[outro]
ekigambo kyo kimala, lye ddagala eriwonya
(tonvuddemu yesu, ka nkutende mulwaatu)
omukisa gwo gumala, mu musaayi gwo tuwona
(tonvuddemu yesu, ka nkutende mulwaatu)
Random Lyrics
- sharyn maceren - heaven lyrics
- mailpup - protecc attacc sexybacc lyrics
- it's fanzostyle l.g - you know lyrics
- juha vainio - kauan sitten lyrics
- anıl durmuş - zamanla geçer lyrics
- sally scott and freddie mercury - aloha, five-o groove lyrics
- andrea boccadoro - astrologaster lyrics
- michael bugatti - kugeln in meinem lauf lyrics
- josh northwood - after you left lyrics
- zion & lennox - demuestra tu hombre lyrics